|
Akediimo ak’okuna ak’abakyala ak’ensi yonna. Ng’enaku z’omwezi munaana omwezi ogw’okusatu nkumi bbiri mw’esatu (8 March 2003). TWETEGEKERE EBISSERA BY’OMUMAASO SAAKO N’OKULABIRIRA BANAFFE MUKIFO KY’OKUTTINGANA. ABAKYALA BAGAMBA TETWETAAGA KUTTINGANA. TWETEGEKERE MUKWERABIRIRA SSO SSI KUTTINGANA Muyitibwa okubaawo kulunaku lw’abakyala okuva mumawanga g’ensi YONNA mumwaka guno gwetulimu ogw’enkumi ebbiri mw’esatu (2003). Fenna nga bwetukimanyi nti tekibanga mubwangu okuyimiriza era n’okukyusa ensi. Tuli mubweralirikivu bw’amanyi nti Gavumenti ya America ejja kukozessa eby’okulwanyisa namuzisaa, ani amanyi akabi akanaleetebwa kubantu wamu n’ebimera! Mukiseera ky’etulimu, Amawulire ne TV (television), tebireseeyo oba tebirina kyebikwese kubiki ebigenda mumaaso, orw’abawakanya olutalo nga bukadde nabukaddebw’abantu okuva mumambuka n’amasserengetta, nga mw’otadde ne America yenyinni, ekibiina kino ekiwakanya olutalo mu Iraq tekikomaawo wokka naye kiwakanya n’entalo zonna endala eziyinza okubalukawo. Tekiringa ababadde bali muddembe, obukadde n’obukadde abamu kuffe, tutusiidwaako ebizibu bingi muby’enfuna yaffe mu zigavumenti ezikulemberwa amagye olwenfuna – Okuva e Congo okutuuka mu Kashimir, Palestine okutuuka mu Colombia, Chechnya okutuuka mu Sudan, Yugoslavia okutuuka mu Afghanistan. Buli mutwe gw’amawulire oguvaayo abakyala bebavaayo okulwanirira obulamu bw’abantu obwononedwa wamu n’ebyabwe, nga obulabe buno bwonna buva kubyakulwanyisa zisa busoro. Eby’okulwanyisa namutta ono, y’enjala gw’omuwadde akatebe eyorekedde obukadde n’obukadde bw’abantu mukissera ky’omumaaso. Ng’ojjeeko enjala n’okuttibwa, orwo tusseeko ebbula ly’enkulakulana mubuli kintu, tulina amataba, n’ekyeeya ekiretebwa embeera y’obudde obukyuka kyuka buli kisseera. Abakyala bakora butaweera nga bagezaako okuliisa abantu babwe buli lukya basobore okubeerawo. Kulw’abalabirira, ebibiinna bitegekera bakawonawo orw’enkyuka kyuka zebabeeramu. Naye okebeerawo kwaffe siky’amaanyi eri enkula kulanna, n’orw’ekyo okuberawo n’okukora tebirabika era tebibalibwa. Nga buli nakku z’omwezi munaana omwezi ogw’okusatu, (the 8 March) akeediimo okusoba munsi nkaaga (60) okuva mubuli kanyomero kansi, kalangirira byetwetaaga, nga tubyagalakumusingi ogwanama ddala getumanyi. Jetukoma ffe nga abakyala okwegatta, tumenyawo enjawukana mu mawanga, amadiini, ennimi, ebibinja ebisosoze mu mawanga ebitwawula n’okutuyisa obubi –era gyetukoma n’okulaga ebyetaago n’okuwulirwa obutayagala ntalo, n’ebyobusuubuzi mu by’okulwanyisa ebinnyika eby’enfuna yaffe. America ekozesa ensimbi ezisoba mu kakadde, ezikozesebwa ensi yonna kuby’okulwanyisa, ekireteera ensi eyo okuba eyawaggulu muby’enfuna. America enonya mafuta – gwemulamwa omukulu era geemanyi ago gebakozesa, America wamu n’amawanga gabulaaya ne Israeli ab’omukago, ekkula kulanya era etunda ebyokulwanyisa mu mawanga amalala gasobore okwerwanyisa gokka nagokka munsi zaabwe. Orwo America esobore okukuuma amaanyi gaayo okuva eri abakyala. Y’ensonga lwaki nsanvu mu bitaano kubuli kikumi (75%) embalirira y’amawanga okugeza nga Uganda ne Pakistan ziyisibwa bubi nnyo munsassanya y’amajje kuba omutemwa munene nnyo gwebateeka kuby’okulwanyisa. Ebigendererwa mu kkediimo Kano biwerezedwa Gavumenti z’amawanga gonna munsi: Musasule kyenkanyi ku
buli omu, abakyala n’abaami tube kumuttindo. Emmere entuufu eri
abazadde abayonsa, basasulwe abo abakora bwebaba bagenze muluwwumula
okusobora okuyonsa, naabo ablindirira okuzaala. Mulekere awo
okutubonereza orw’okuba tuli bakyala. Temuwa bbanja ensi
ezikyakula oba enjavu ennyo. Abakyala tetulina kyetubabanja wabula
beebabanja ffe. Obusoboziku mazzi amyonjo,
amlwaliro, amayumba, entambula, nokugobawo obubuya. Obutajjamawaza bintu
byaffe era n’ebyuma ebikendeeza essawa zetukora. Ffena twetaaga ebyuma
ebifumba ebyomulembe, Fridge, ebyuma ebyoza engoye, Computers era n’akkassera
akk’okuwumulako! Okukkuma abanonyi b’obubudamu
okuva mubikorwa ebyekko nga mwotwalidde abatulugunyizibwa, ng’ogassekko
n’abenganda zabwe n’abantu abali mubifo eby’obuvunanyizibwa. Eddemberyo okulyeyagaliramu, ebibuga okubitambuliramu ekyeere nga tewali kutya, kati ate lwaki nedda kubantu? Mumyezi egiyise, okwekalakaasa kw’omulamwa kukyetwagala mukuzza embalirira y’amajje, omulanga guwulidwa abantu bonna mubitti byabwe okuviira ddala kumawanga agakyakula. Tukiriziganyizza nti singa orutalo luno orubindabinda lubalukawo, kijja kuba kulumba buli kitonde kyona kunsi yaffe; okuva eri abakyala abazadde abetaaga amazzi amayonjo, emmere, nembeera enungi, okutuuka ku bakorera empeera abo bebamu ku bukadde abawalirizibwa okuleka emirimu gyabwe nebettaba ku balwanirira okuwakanya omussala omutono, n’okukora essawa empanvu, okutukira ddaala kubalema aba buli ngeri n’abakaaaaddiyizibwa kumirimu nga tebafuna sente zibamala kuyamba, abaana abtafuna kuyigiribwa kusokkerwako wamu naabo abatafuna sente za gavumenti kweyongerayo kusoma, okutukira ddala kubantu abatalina webbegeka luba. Nga bino byonna babisonga ku busiriivu bwa pawundi lwenda (£) 900 nokusoba ezonoonebwa ku by’okulwanyisa namuzisa. Neetaga kumanya: Lwaki amajje tugafuula ekintu ekikulu, wegatali nga tetusobora kubeerawo? Kano akkeddiimo kapya nnyo kubyafaayo,sikulwanyisa ntalo zokka, naye n’okulwanyisa okukaliga kw’ebyogagga ne by’enfuna byetukorera awamu. Ekisinga okwetagisa kati munsi yenkeendeza y’ensasanya yasente ku majje. Kunkomerero yaabino, abantu bategessewo enkora empya eyebitongore nga buli kimu kissinziira ku mulamwa ogubalirwa ku kitongore ekirala, era nga kiwakanya abeby’obufuzi abenonyeza ebyabwe era nebibiina by’obufuzi ng’ekigendererwa kyabew kusigala mubuyinza. Wadde abaami basobora okuvaayo nebabaako nekyebogera, naye abakyala bulijjo bebassoka kulunyiri mukwekalakaasa mukuwakanya olutalo era banyikivu nnyo. Mumwaka gwonna, okwekalakaasa kukoze ebika bingi okutegeka: Mubuli Ssabitti mubaaamu abekalakaasi abawakanya olutalo munsi nyingi; Omulimu gwabuli lunaku okulwanirira eddenbe lyaffe mubyenfuna, eby’obulamu, abanoonyi b’obubudamu okubazza gyebava, okukwata abakyala, n’emize emirala egyekko… Omulanga gwaffe n’okwekalakaasa kunonyeza ebintu ennimi nyingi kulwa nga munaana omwezi ogw’okusatu (8 March) nga gutwala amawulire eri abajjumbira mukwekalakaasa munsi nyingi. Ennimi zino kati ziri mu: Spanish, Olungereza (English) Swahili, Portuguese, Oluganda, ne mufe kukulabirira sso ssi kutta nalwo luli munnimi nyingi. Ekibinja ky’okwekalakaasa kino kirina emigaso mingi, mubifo bingi ebyomugaso byekikoze mumawanga. VENEZULA mu mumwezi gw’omusanvu, muyitibwa kulw’amatendekero ga Gavumenti z’abakyala, Twawereza muganda waffe okuva e Guyana, omulala ng’ava mu Peru era n’omulala ng’ava mu America. Okulendebwa kwa Pulezidenti Hugo Chavec okukulembera, aba Venezuelans basaba okuddizibwa omusoro gw’amaffuta balwanyise obwavu kinaana kubuli kikumi (80%) kubantu. Amangu ddala balumbibwa amajje ga kku agalondebwa embagirawo, nga gaddumirwa America n’abasosoze mulangi okuva mu Venezzuelan era gawandulwako oluvanyuma lw’emyaka amakumi anna (40) mubuyinza. Naye kati nkumi nankumi abantu bakansangwawo – bakulemberwamu bakyala abawaayo obulamu bwabwe mukusooka – Bajja kunguudo era nebamegga kku okujjijja mubuyinza. Kati Gavumenti yabwe, ekorera ddala ku misango abamu kuffe gyetuwangula awtali kwesigama kumawanga malala, era twayita ekibiina ky’abakyala okuzimba omusingi omugumu ogw’obuwanguzi. . . . . . (More to come) |