|
Ab’oluganda, Okwekalakaasa okw’omukaaga okw’ekibiina kyabakyaala ekiyitibwa “Global Women’s Strike” - 8 March 2005 Okukomya obwavu n’entalo – Okwenyigira mu kulabirira sso ssi kutta! Omusaala ku mirimu gyaffe ogusobola okutubeezaawo n’obwenkanya mu Katale k’amawanga akawamu. Okuviira ddala mu 2000, olunaku olujjukirirwako abakyaala mu nsi yonna (International Women’s Day),abakyaala mu nsi ezisukka mu 60 bakoze ebintu bingi ebyentandikwa era nga byanjawulo ngabasaba ensi yonna okussa essira mukulabirira abantu naye sso sikubatta. Nebagattako n’okusaba ssente eziyononebwa okugula eby’okulwanyisa zikozesebwe okuyamba abo abali mubwetaavu. Ekibiina kyeyongedde amaanyi mumyaka etaano egiyise okuviira ddala ku kwekalakaasa okwasooka; n’okusingila ddala mumamawanga ogomumaserengeta. Abakyaala, n’abaami abeyongera obungi buli kaseera, benyigira mumikolo omwaka gwonna. Tulabye engeri enkolagana n’amawanga amalala mukuyaayaanira obwenkanya bwekituwa obuvumu n’amaanyi mubyetukola. Okugaana entalo n’okujjawo obwaavu biri mu kiti kimu era bigendera wamu. Gyebuvuddeko abantu 300, 000 baatomokera mu muyaga gwenyanja “Tsunami” naye ate nga buli lunaku enkumi n’enkumi baf’enjala, endwadde n’ebbugumu eriva mumakolero. Bino byonna byebimu kubikolobero ebikolebwa omuntu olw’etteeka lyokunonya ensimbi, okugula n’okutunda. Gavumenti n’abagoberezi baazo boogera ntakera nti bagoba obwaavu naye teboogera kukutuwa ssente zetwetaaga. “Banaggwano” era “Bannantagambwaako”, abalongo bombi abaleeta obwaavu n’entalo mu nsi bbo baganyulwa. Kale kibaberera kizibu okulekayo ekimu kubintu bino. Ffe ffekka, okutandikira ddala kubakyaala abalabirizi, abakola enkya n’eggulo okubezaawo obulamu, abakol’ennyo ng’ate tusasulwa katono; abasobola okutekawo enkyukakyuka enezzaawo obulamu mu bantu. Okwekalakaasa yengeri yaffe gyetujja okukozesa. Tetusaba buyambi wabula tulajanira musaala gwaffe gwetukoleredde. Omusaala mu mirimu gyaffe gyonna ogutubezaawo obulungi. N’abakozi, babe bakyaala oba baami, bafunne omusaala gwegumu mubwenkanya: Obwenkanya mu misaala mu katale kensi yonna. Eno yenteekateeka y’okwekalakaasa kw’abakyaala okugoba obwaavu, okujjawo enjawukana mubakazi n’abasajja era n’ebbibiro mumawanga. Ekigendererwa bulijjo ekyekibiina ky’okwekalakaasa kwekugatta abakyaala (n’abaami) ab’engeri ezitali zimu. Kitandikira ku ffe abatalabwa ng’abakozi: banakazadde, abalabirizi, abasaakirizi ab’ennono, abalimi bemmere eyokwebezaawo, abalimi ababuli kiti, abafuna “akamwaanyi” akatamala, abalabirizi b’abaana, abanonyi bobubudamu abalina empapula n’abatalina, abakozi abatakkirizibwa kukola mulimu mulala gwonna, abakozi mumaka, bamalaaya, abasibe n’abaasumululwa, abagaana okuyingira amagye, abayizi, abaagwejulwa, abakolerera obwenkanya, n’abewaayo okukola nga tebasasullwa, tube baami oba bakyaala, bakyenvu, baddugavu oba bamyuufu, tube ba ddiiniki, ggwanga ki,….Okulajanira okusasulwa mubwenkanya munsi yonna olw’emirimu gyetukoze, kizzaamu amaanyi abakozi abasasulwa mungeri yonna era ngatulaga kyetukola n’amaanyi gekikazi agava mu kwegatta. Okuwagira kw’abasajja n’okwenyigira mu kwekalakaasa mu nsi yonna kukwanaganywa “Payday”, ekibinja ky’abaami ababuli kkala nabuli lulimi. Tebakoma kuwagira kwekalakaasa kwabakyaala kwokka naye, bakunganya abaami n’abakyaala abagaana okuyingira mumagye n’okukola ebikolwa ebissi ebiri mumagye mumawanga okuva mu US ne UK okugenda mu Israle ne Eritrea. “Ebbago ly’abwaavu” – muno mwemuli abawalilizibwa okuyingira amagye olwebyenfuna ng’era abasingamu banoonyi babubudamu oba abatali ba “kyeeru ppe” – bano bebawaga US okulwana entakera. Kale abo abagaana amagye bamugaso nnyo eri ekibiina kubanga bayamba okugoba obwavu n’okulekeraawo entalo. Ekibiina, “Payday”, kijja kutandika okulaga olutimbe lw’bifaananyi (film) byakyo omulundi ogusooka lwebayita “Refusing to Kill” (ekivvunulwa okugaana okutta). Olutimbe luno lulaga abaami n’abakyaala gyebagaanamu okutulugunya, okujengula n’okutta mu magye. (E-mail: payday@paydaynet.org Website: www.refusingtokill.net ) Okwekalakaasa kwa ba Bolivi mu Venezuela n’okugaana okuwamba kwamagye g’America ne Bufaransa e Haiti byakuyigirako mu kwekalakaasa kuno. Okwekalakaasa kwombiriri kwakulibwa bakazi wadde kino tebakikkiriza. Ekibiina ky’okwekalakaasa kijja kuggulawo olutimbe (film) lwakwo olwokusatu ku Venezuela* Ebyokuyiga ebitagambika byebafunyemu biraga nti entandikwa byeyagala era byeyayanira buli wantu bisoboka okufunika Abasinga mu ffe tuwunikiridde okuwulira nti Bush nebassi banne bebanakulira eggye ekkulu munsi yonna okumala emyaka emirara ena! Naye nga Joe Hill, omukozi musiba tayi ate omulwannyi namige byeyagamba nga police y’Amerika emusibyeko omusango gwobutemu era nebamusalira ogwokufa nti, “Temukaaba. Mutegeke!” Amaanyi eri aboluganda okukomy’ensi nokugikyuusa! Selma James Global Women’s Strike (Omukwanaganya wekibiina mu nsi yonna) *Entimbe
ebbiri (Venezuela – A 21st
Century Revolution ne The
Bolivian Revolution: Enter the Oils Workers!) weziri mulu
Spain n’oluzungu, ku VHS ne DVD. Bwoba wetaaga ebisingawo tukirira
ekibiina |